EKISANJA KY’ABAKULEMBEZE: Minisita Namuganza awagidde eky’emyaka omusanvu
Waliwo ababaka abawagidde eky’okwongeza ekisanja ky’abakulembeze okuva ku myaka etaano okudda ku munsavu ngabagamba kino kyakukendeeza ensimbi wamu n’obukenke obubeera mu kalulu.
Bano nga bakulembeddwamu minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza bagamba n’okuzaawo ebisanja bakuwakanya.