EKIRWADDE KYA MUKENENYA: Kyetaagisa okukyusa mu bubaka ?
Okunoonyereza okwakolebwa minisitule y’ebyobulamu ku bulwadde bwa mukenenya mu 2021 kwalagga nti obulwadde bunno bwongedde okweriisa enkuuli mu bavubuka naddala abaana abawala. Kino kireseewo okutya nti ob’olyaawo obubaka obukwata ku bulwadde bwa mukenenya bwandibanga tebutuuka ku bavubuka ekintu ekibatadde mu matigga. Tulondodde ensonga eno okulaba wa eddibu weriri n’engeri abali mu kawefube w’okulwanisa mukenenya gye bagenda okulizzibamu.