EKIRAGIRO KU AKENA: Agamba waakubigonjoolera mu ttabamiruka w’ekibiina
Pulezidenti w’ekibiina ki UPC era nga ye mubaka wa Munisipaali ye Lira Jimmy Akena agamba nti mu buli ngeri waakwesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu ka 2026 yadde nga waliwo ekiragiro kya kkooti ekyafulumiziddwa nga kimuyimiriza okwesimbawo ku kifo kino kko n’ekyekibiina kyakulembera mu kiseera kino. Akena agamba nti talina nteekateeka yakuwakanya kiragiro kya kkooti wabula wakweyambisa ttabamiruka w’ekibiina okugonjoola ensonga zonna ezeekuusa ssemateeka w’ekibiina okulaba nga avuganya ku ky’omukulembeze w’ekibiina n’okukikwatira bendera mu kalulu akajja.