EDDEMBE LY’OBUNTU: Akakiiko kaagala alipoota zikolweko
Akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu kasabye palamenti etandike okutunuulira mu alipoota zabwe eziweebwa sipiika mu bwangu okusobola okukangavvula n'okussa ebyo ebiba biteekebwa mu alipoota zino mu nkola. Kitegerekese nti palamenti ebadde tefunanga mukisa kuyita mu alipoota zino okuva mu mwaka gwa 2018 okutuusa kati. Ssentebe wa kakiiko kano Mariam Wangadya okwogera bino asinzidde mu musomo gwebategekedde ababaka abatuula ku kakiiko k’eddembe ly'obuntu.