DODO NE KICONCO: Palamenti ekkirizza basasulwe buwumbi
Palamenti yakkirizza akakiiko k’ebyettaka okusasula omusajja nneekolera gyange ayitibwa Medard Kiconco obuwumbi bwa sillingi busatu n’obukadde 800 ku ttaka ly’e Lusanja eryafuuka ensonga. Omulala agenda okusasulwa ye Dodovico Mwanje ajjukirwa ennyo olw’okumenya ekkanisa y’omu Ndeeba. Akakiiko akaateekebwawo okunoonyereza ku nsonga eno kaazuula nti minisitule y’ebyettaka yatuukiriza obukwakkulizo bwonna obulina okuyitibwamu okuliwa omuntu