DAVID SSENFUKA: Ensonga z’ettaka wakati we n’abakulembeze ziri mu kkooti
Omuwandiisi wa kooti enkulu e Masaka Julius Borore awadde nga ennaku z’omwezi 23 omwezi guno okuwa ensala ye ku musango omutabuzi w’eddagala ly’ekinnansi David Ssenfuka gweyawawaabira abakulembeze mu district ye Bukomansimbi obutaddamu kulinnya ku ttaka erikaayanirwa. David Ssenfuka eyamanyibwa ennyo olw'okutabula eddagala erigambibwa okuvumula endwadde enkambwe nga kkokoolo yawalawala Fred Nyenje Kayiira, ssentebe wa district ye Bukomansimbi, Amyuka omubaka wa president e Bukomansimbi Fred Kalema Pax saako ne ssaabawolereza wa gavumenti mu kooti nga abalanga kukuma mu bantu muliro okukomya okusasula obusuulu ku ttaka lyagamba nti lirye.