BUWANGUZI BWA RUTO: Waliwo bannayuganda abakedde okubinuka amasejjere
Oluvannyuma lw’okulangirira ebyavudde mu kulonda e Kenya, Bannayuganda ku nsalo beetemyemu nga abamu bajaganya nti embeera eteredde era emirimu gya kuddamu kutambula ekinnawadda kyokka abalala bakyali beeraliikirivu ku biyinza okubalukawo olw’obutakkaanya obukyetobese mu by’alangiriddwa mu kulonda. Bano Boogedde ne ku bunkenke obwabaddewo ng'omuwanguzi mu kulonda kuno tannalangirirwa.