Ba kkansala e Nakasongola bagaanidde essimu
Ba Kansala abakiika ku disitulikiti y'e Nakasongola bagaanye okuzzaayo essimu ezaabaweebwa okubanguyizaako emirimu. Ekisanja kyabwe kyaweddeko naye baabadde bamalirivu bwe kyatuuse ku kulemera essimu zino era baayisizza n'ekiteeso ng'ekisanja tekinaggwerako ddala ekibakkiriza okuzisigaza abapya nabo babagulire ezaabwe.