AKALULU E SERERE: NUP egamba yaakuwagira Alice Alaso
Ekibiina ki NUP kirangiridde nti kyakuwagira munna ANT Alice Alaso mu kalulu ak’okujjuza ekifo eky’omubaka wa Serere. Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvannyuma lwa Patrick Okabe eyali omubaka w’ekitundu kino okufiira mu kabenje k’emmotoka ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Aba FDC nabo bategeeza gyebuvuddeko nga bwebasimbyewo owabwe nga ye Emannuel Eratu.