ABEEGABANYA AMABAATA: Banna NRM e Wakiso baagala museveni abakangavvule
Bannakibiina kya NRM e Wakiso bagaala omukulembeze w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina kyabwe Yoweri Museveni akozese omukono ogw'ekyuma okukangavvula ba minisita be bonna abeetabye mu kwegabanya amabaati agaali ag’okuyamba abantu b'e Karamojja Bano balowooza nti ekyakoleddwa ba minisita bano kivumaganyizza nnyo ekibiina ekyolekedde n’okukosa obuwagizi bwakyo mu bantu Omwogezi wa NRM Emmanuel Ddombo agamba nti nga ekibiina kiwagira okunoonyereza ku bammemba baakyo bonna abaasongeddwamu olunwe ku nsonga eno n’okubakangavvulu mu mateeka singa kizuuka nti bali mu nsobi