Abaana abaafudde e Mubende leero lwe baziikiddwa e Mityana
Abaana omusanvu be twakubuuliddeko jjo abaafudde ekiziyiro baaziikiddwa wakati mu nnaku etagambika ku kyalo Bulyankuyege e Sekanyonyi mu disitulikiti ye Mityana. Abaana bano bonna baabadde ba nju emu. Okutuuka okufa, ky’avudde ku ssigiri gye baayingizza mu weema mwe baabadde basula olwo ne beebaka mpolampola essigiri negenda nga eyokya empewo ennamu essibwa abantu era ne bafa awatali yadde okutaasaako omu