ABAAFUUMULWA KU TTAKA E KIKUUBE: Minisita Mayanja yennyamidde olw’embeera gye balimu
Minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja alagidde abakulira kampuni ya Hoima Sugar Limited okuliyirira famire z’abantu ebikumi bina abaagobwa ku ttaka e Kiswaza Kikuube gyebasalawo okusimba ebikajjo . Kigambibwa nti mu 2014 kampuni yafuna liizi ya hectares lukumi mu bibiri eri omulangira wa Bunyoro Kimera Rwakiswaza okulimako ebikajjo kyoka nga erimu ku ttaka lino lyaliko abantu . Ebyalo ebyasinga okukosebwa kwekuli Muziranduru, Kyandagano, Ikoba n’ebirala.