ABA DP ABAAKWATIDDWA: Poliisi erinze ssaabawaabi wa gavumenti okubatwala mu kkooti
Abamu ku bannakibiina kya DP n’abenganda z’abo abaakwatiddwa ku kitebe kya DP olunaku lw’eggulo bakedde kugumba ku poliisi ya Old Kampala nga babanaja abantu baabwe nebalumiriza akulira ekibiina kino Norbert Mao okubalanga obwemage. Poliisi esabye bano okubeera abagumiikiriza kubanga fayilo zaabwe zawedde dda nga ekisibye gwemusomo aba ofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti gwebalimu okulaba ekiddako.