EBY’E TTEMANGALO TEBYAGGWA : Enkaayana ku ttaka zikomyewo mu palamenti
Akulira ekittavu ky’abakozi ekya NSSF Richard Byarugaba, Omusuubuzi Amos Nzeeyi neyali omumyuka wa Ssaabalamuzi Steven Kavuma bayitiddwa mu kakiiko ka palamenti ak’enjawulo akanoonyereza ku bintu ebyaali eby’Abayindi.
Bano beetaagibwa okunyonnyola obwananyini bw’ettaka lye Ttemangalo, NSSF lyegagula oluvanyuma lw’Omuyindi Nazim Moosa okutegeeza akakiiko nti ettaka lino lirye.