Minisitule y’ensonga z’abakozi ekakasiza ekyokwongeza emyaka abasawo abakugu kwebalina okuwummulira okuva ku nkaaga okutuuka ku nsanvu .
Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule eno Catherine Bitarakwate agamba nti kino kivudde mu myaka abantu gyebalina okufiirako okweyongera , sso nga n’abasawo abakugu bano bakyetaagisa nnyo mu malwaliro ga gavumenti.