Magufuli owa Tanzania ebya COVID-19 abigayaaliridde - Akawungeezi | NTV

Magufuli owa Tanzania ebya COVID-19 abigayaaliridde

By Frank Walusimbi

Wednesday May 20, 2020

OKUVA Magufuli lwe yawangula obwa Pulezidenti mu 2015, bangi bamwenyumirizaamu olw’okuba yeeyoleka ng’omukulembeze mu Africa ayawukana ku balala nga bwetubamanyi.


Magufuli Yafuba okukendeeza ensaasaanya ya gavumenti, ng’amalwaliro agalambula abasawo abatabeera ku mirimu n’abakangavvula, b’ofiisa ba gavumenti yabagaana okutayaayaaya ebweru ku ng’endo ezitaliimu makulu, nayongera ku ssente ezigula eddagala, omusaala gw’obwa pulezidenti n’agusala okuva ku doola 15,000 okutuuka ku doola 4,000 [eza Uganda obukadde nga 14].


Magufuli era yakola kinene okuzza obuyinza eri gavumenti ku bugagga obw’ensibo obwali bumaamiddwa abagwira abaali bezza ku ka ssente akabuvaamu - ebirala kuliko okwongera amaanyi mu nnyonyi y’eggwanga.


Mu 2016 Magufuli yatandika okugolokokera ku b’amawulire era emikutu egya radio, tv n’empapula gy’atandika okusanga obuzibu olw’okufulumya ye Magufuli byayita eby’obulimba. N’okutuusa kati, bannamawulire bakola beegendereza olw’okutya layisinsi zaabwe okusazibwamu nga ne kaakaati ensi weyeetaagira ennyo okumanya ebifa ku COVID-19, mu Tanzania kikyali kizibu okubifuna mu bujjuvu n’obwerufu bwabyo.


Magufuli musajja mukatoliki atagooka kyokka ba bishop bazze bamusitukiramu olw’okufootola eddembe ly’obuntu - naddala ery’okwogera n’okwetaaya mu by’obufuzi.


Ensi yonna nga eggalawo ebifo ebivaako COVID-19 okusaasaana, Magufuli yagaana okuggalawo era ebifo ebisinzibwamu n’ategeeza nti ate ebyo byo bisuffu kubanga okuwonyezebwa kuli eyo.


Gyebuvuddeko yali ategeezezza nti Katonda ajja kugera, omwezi gwa March guliba gugwako nga ne Covid agenze ekintu ekitatuukirira.


Mu nkola ze, Magufuli alinga atataddeeyo mwoyo ku bya COVID-19 ng’agamba nti eby’enfuna bya Tanzania bisinga ekintu ekirala kyonna.


Bweyali e Chato gy’asibuka yategeeza nti omwana we COVID-19 yamukwata kyokka omwana yanywedde nniimu n’amazzi agookya n’awona - kino kyalesse abantu bangi naddala abakugu mu by’obulamu nga beewuunya Magufuli omusajja eyasoma sayansi okuba nga anafuya ebiyinza okutaasa abantu.


“Omwana wange gwe nzaala yafuna coronavirus. Twayenga eddagala, netufumba obulimmaawa n’entangawuuzi netumuwa n’aba bulungi. Yawonera ddala akola ne press-ups [akajjuza]” Bwatyo Magufuli bwe yategeeza abantu nga 17 March bwe yali e Chato gy’azaalibwa.


Ebyo by’ali tebinnabaawo, Magufuli yategeeza nti abakebera Covid-19 yabatega sampo zeyaggya ku mbuzi, endiga n’amapapaali nti era bwe baazikebera ne bamutegeeza nti nazo zirina covid-19.


“Twabatwalira sampo gye twaggya ku ppaapaali ne tubagamba nti tugiggye ku muwala ayitibwa Elizabeth Anne. Bwe baamala okukebera ne batugamba nti bagisanzeemu Covid-19!”


Magufuli bwatyo bwe yategeeza oluvannyuma alyoke alumirize abali ku mulimu gw’okukebera e Tanzania nti balinnyisa omuwendo gw’abalwadde.


Nyambura Moremi eyali akulira eggeserezo [laboratory] erikebera COVID-19 yawumuzzibwa ekyaleetawo okukubaganya ebirowoozo ng’abantu abamu mu Tanzania n’ebweru waayo balumiriza Magufuli okugatta eby’obufuzi n’obulimba mu kaweefube w’okutangira Covid-19.


Omulala eyagobebwa ye Faustine Ndugulile, omumyuka wa minisita w’eby’obulamu. Ono tekimanyiddwa oba ekyamugobya kyekuusa butereevu ku Covid-19.


Ebiva e Tanzania biraga nti COVID-19 ateekwa okuba asaasaanye kinene. Ebitongole ebimu wiiki eyise by’ategeezezza nti amalwaliro mangi gajjudde abalwadde ba COVID.


Magufuli ebyo yabiwakanyizza nga bw’agamba nti abasawo abafulumya amawulire ago bakolera bazungu. Kino ky’avuddeko ebitebe by’amawanga ng’ekya America okusaba bannansi b’amawanga g’ebikiikirira mu Tanzania obutaddamu kufuluma mu mayumba okuggyako nga tekyewalika.


Amawanga nga Zambia ne Kenya gaggaddewo ensalo ne Tanzania kubanga abantu bangi abavaayo babadde bakeberwa nga balwadde. Mu Uganda, bangi ku bagoba b’emotoka z’eby’amaguzi abasangidwamu Covid-19 Batanzania. Abasinga bazziddwayo wadde wakyaliwo abatono abali mu ddwaliro e Masaka.


Ebitali bitongole ebiriwo biraga nti Tanzania erina abalwadde 509 nga 183 ku bano bawonye ate 21 ne bafa. Gavumenti y’e Tanzania ebadde teddangamu kufulumya bikwata ku Covid-19 okuva nga April 29.


Magufuli eyali agamba nti okusaba kugenda kumalawo COVID-19, yekyusa ennaku ezo n’ategeeza nti yali wa kutumya eddagala eriwonya COVID okuva e Madagascar.


E Madagascar baatandika okukamula eddagala lye bagamba nti liwonya COVID okuva mu kimera ekiyitibwa artemisia nga ekimera kye kimu kye kivaamu eddagala ly’omusujja gw’ensiri. Ab’ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna tebakakasanga ddagala eryo wadde lyatuuse dda mu Guinea Conakry ne Equatorial Guinea.


Magufuli [61], ye ssentebe wa Southern Africa Development Community [SADC] omukago gw’eby’obusuubuzi ogutaba amawanga agali mu maserengeta ga Africa.


Obwa pulezidenti yabufuna mu 2015 oluvannyuma lwa Jakaya Kikwete okumaliriza ebisanja bye ebibiri.


Magufuli si mupya mu by’obufuzi e Tanzania. Mu 1995 lweyasooka okulondebwa ng’omubaka mu Palamenti. Nga mubaka, yalondebwa ku bumyuka bwa minisita ow’emirimu egigasiza awamu abantu okutuusa mu mwaka gwa 2000 lwe yafuulibwa minisita omujjuvu owa ministule yeemu eyo. Yaliko minisita w’eby’ettaka n’okutebenkeza abantu era n’abeerako minisita ow’amagana n’obuvubi.


Mu 2010 yazzibwayo mu ministry y’eby’emirimu okutuusa mu 2015 lweyeesogga olw’okaano lw’obwa Pulezidenti era n’awangula ng’avuganyiza ku kaadi ya Chama cha Mapenduzi.


Nga tannayingiria bya bufuzi, Magufuli yali musomesa wa chemistry n’okubala - obusomesa yabuvaamu nakolako mu Nyanza Cooperative Union ng’omutabuzi w’ebirungo ebikozesebwa mu makolero - oba industrial chemist.


Eyo gye yava mu 1995 alyoke alondebwe ng’omubaka wa Chato district.


Obwa nnampulira zibi Magufuli bw’akola kati ku COVID-19 bwandivaako ebendobendo lya East Africa okulemwa okuzingiza COVID-19 obudde nga bukyali ate munda mu Tanzania ne buvaako abali mu nkumi n’okusoba okulwala n’okufa.