SIRAJE BAKALEKE: Kkooti eyisizza ebbaluwa emuyita

Wednesday September 5, 2018

 

Kkooti ewozesa abalyake n’ababbi ba ssente za gavumenti eyisizza ebbaluwa etumya ofiisa wa Poliisi  Siraje Bakaleke n’aba poliisi abalala 6.

Abantu bano beetaagibwa mu bwangu ku misango 12 -  okuli okukozesa obubi wofiisi, okuwamba abantu n’okwekobaana  okuzza emisango.

Bakaleke ne banne okuyitibwa kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Harriet Angom okutegeeza kkooti nti takakasa oba nga ddala abawawaabirwa bano baafuna   ebbaluwa ezibayita ezabaweerezebwa mu July w’omwako guno.

 Omusango omukulu mu gibavunanaibwa gwa kukwata bannansi ba China  basatu nebabaako webabasibira olwo nebabatwalako ddoola za America ezisoba mu 4000. Kigambibwa nti byaliwo mu mwezi gw’okubiri omwaka guno.

Samuel Nabeta  akulira kampuni ya Eye power ye yekka eyeeyanjudde eri kkooti nasomerwa emisango era gyonna nagyegaana.