Tetunategeezebwa: Poliisi eyogedde ku kwewandiisa kwa NUP
Poliisi etegeezezza nga bwetanafuna kutegeezebwako kwona okuva eri ekibiina ki NUP ku ky’okutalaaga eggwanga nga bawandiisa bannakibiina kyabwe kko n’okukunga buwagizi nga bwekyategeeza ku nkomerero y’omwezi oguwedde.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga bano balina okutegeeza poliisi okusobola okubawa obukuumi. Kinajjukirwa nti enkungaana za NUP nyingi poliisi ezze ezirinyamu eggere nga obuzibu buva ku butagyitegeezako ku nteekateeka zaabwe okubawa obukuumi.