Okukuuma empewo nga nyonjo: NEMA eriko ebiragiro ebirala byereeta
Kizuuliddwa nga edwadde eziva ku kussa omuka omukyafu bwezeyongedde mu ggwanga naddala mu bibuga.
Kati gav’t eriko ebiragiro ebipya byeyagala okuleeta okusobola okutaasa embeera eno gamba nga okukendeeza ebidduka mu bibuga, okuggala kampuni ezifulumya omukka ogw’obulabe n’ebirala.
Bino byogeddwa akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi ki National Environment Managment Authority.