OMUZANNYO GW’EKIGWO EKIZUNGU: Waliwo abamerika abakyadde bannayuganda gye baguzannyira
Omuzannyo gw’ekigwo ekizungu oba wrestling ekyatandikibwawo Bannayuganda mu disitulikiti ye Mukono gweyongedde okufuna ettutumu ku ddaala ly’ensi yonna oluvannyuma lw'abamu ku baguzannyA okuva mu ggwanga lya America okukyalako mu kifo kino ne batendereza Bannayuganda abagwenyigiddemuBano bazannyiddeko mu kifo kino era ne basuubiza okubakwatizako okwongera okutumbula omuzannyo gwabwe guno.Patrick Ssenyondo yabaddeyo nga Abamerica bano bakyadde.