EBY’ENSOMA MU UGANDA: Musenero ayagala essira lissibwe ku bikulaakulanya eggwanga
Minisita wa sayansi ne tekinologiya , Dr. Monica Musenero, ayagala okusoma kusse essira ku bintu ebisobola okukulaakulanya eggwanga , mu kifo kyokutunuulira okuyisa obuyisa abaana .Ono bino abyogedde aggalawo olukungaana ku by'enjigiriza olwategekeddwa Aga Khan yunivasite