Basatu bafudde e Kasese, ettaka liyigulukuse n’eribuutikira ennyumba yaabwe
Abantu basatu nga bonna ba famile emu bafiiridde mu kuyiguluka kw’ettaka okukubye ekyaalo Mapatha e Bugoye mu distulikiti y’e Kasese. Okuyiguluka kunno kwavudde ku nkuba ettonnya obutasalako mu nsozi ezisaangibwa mu kitundu kino era nga n’abantu abali eyo mu 146 baakoseddwa okumbulukuka kw'ettaka kunno. Abakulembeze bagamba nti w’ofiisi y’e Ssaabaminisita erina okukola ekisobooka okulaba ng’etaasa abantu abali mu kitundu kino.