BABAKOONEDDE ENNYUMBA: E Gombe waliwo nnamukadde asobeddwa
Waliwo Namukadde ow’emyaka 80 alajaana oluvanyuma lw’abantu abatanamanyika okukkakana ku nyumba ye ne bagikoona mu kiro ekikeeseza olwa leero ku kyalo Saayi mu gombololo y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana.Abalumbaganyi tebaakomye awo n'ebirime bya Margaret Nantumbwe baabisaaye ng'entabwe wonna eva ku mbiranye ku ttaka lino.Nantubwe na begaanda zze kati baagala minisitule ye by’ettaka ebadduukirire kubanga tebalina wakudda.