Bannansi b’eggwanga lya Central African Republic naddala mu bitundu eggye lya UPDF gyelibadde lisimbye amakanda nga liyigga omumpembe Joseph Kony, beelaliikirivu ku kigenda okuddirira ng’amagye gano gaamusse eggwanga lino
Olunaku lw’eggulo UPDF lweyasiibudde mu butongole okuva mu ggwanga lino. –
Okusinziira ku aduumira UPDF Gen. David Muhoozi, bassajja ba Kony bandikozesa omukisa guno okuddamu okuyigganya abantu mu bitundu bino.Ono asabye ekitongole ky’amawanga amagatte kirowooze ku magye agagenda okuddira UPDF mu bigere