menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 3 weeks 3 days ago
733 Views

Share this story

Ab’oluganda basatu bakukkulumidde etendekero ly’abannamateeka erya LDC
Bano bagamba gavumenti yatwala ettaka lyabwe mu mwaka 1987 neriwa LDC

Waliwo ab’engenda basatu abakukulumidde entendekero ery’bannamateeka erya Law Development Centre okukozesa ettaka lyabwe kyoka nga tebannaba ku baliyirira, bano bagamba tebandi yagadde okwekubira nduulu mu kkooti mu kiseera kino wabula embanga eritwaliddwa tebaliyirirwanga ddene.

Bano bagamba nti oluba babonabona bwebati nga eteeka lye ttaka eririwo lyeri kyakola olwo singa eteeka gavumenti lyegala okuleeta eriGiwa obuyinza okukozesa ettaka ly’omuntu nasasulwa oluvanyuma.  Aba LDC bagamba nti ssente z’abano zikyesibidde mu minisitule y’ebyobulamu.

Abenganda basatu okuli Hassan Abdullahi Wadriff, Ahmed Wadriff ne Abdulfatah Wadriff, ssi basanyufu n’entendero ly’abannamateeka erya FDC, okulwaawo okubaliyirira ku ttaka lyabwe le batandise okukolerako emirimu gyabwe.

Bano bagamba gavumenti yatwala ettaka lyabwe mu mwaka 1987 neriwa LDC, lino eriweza decimals 26 erisangibwa mu zone ya Kitamanyangamba mu Kagugube Parish wano mu Kampala

Mu mwaka gwa 2002, gavumenti yawereza gavumenti valuer ettaka nalibariramu obukadde 143, kyoka nga okuva olyo bano batambudde n’ebakoowa nga tebafunanga ku munwe gwa ssente.

Bagamba n’omuwendo valuer gweyalagira bawebwe tebakiriziganya nagwo, puliida wa LDC atubulidde lwaki zino ssente zebagenda okubawa.

Wetwogerera LDC, ettaka lino etandise okulizimbako ekikomera, kyoka bano balina okutya nti singa kino kiggwa tebajja kusobola kubanja bantu ssente zabwe.

Gavumenti yaleeta ebbago mu palamenti nga eyagala ligiwe obunyiza okukozesa ettaka ly’omuntu yena, nga wewabeerawo enkaayana ssente ze azisanga mu kkooti. Bano bagamba nti olaba babonyebonye bwebati kuteeka eririwo kati olwo liri singa liyisibwa.