menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 1 week 1 day ago
397 Views

Share this story

Abasibe basatu okuva mu kkomera e Luzira bayitidde wagulu mu bigezo bya PLE
Abayizi okuli Sowedi Nsubuga ne Junior Tumuhimbise batubulidde essanyu lye balina mukiseera kino oluvanyuma lw'okufuna amawulire agesanyu.

Ekitongole kyebigezo muggwanga kasita kimazze okufulumya ebigezo by bayizi ab'ekibiina ekya kyomusanvu tutuuseko mu mukomera erye Luzira okulaba abayizi ba Uganda government upper prison primary school okulaba abaayo bwebakoze.

 

Eno abayizi 89 beewandiisi okutuula ebigezo eby'omwaka oguwedde eby'eky'omusanvu. Kyoka 79 beebatuula ebigezo bino 3 bayitidde mu ddaala erisooka.

 

Abayizi okuli Sowedi Nsubuga ne Junior Tumuhimbise batubulidde essanyu lye balina mukiseera kino oluvanyuma lw'okufuna amawulire agesanyu.

 

Akulira esomero ly'abasibe bano Gilbert Niwamanya, musanyufu engeri abayizi be gyebakoze mu.

Kyoka agamba nti singa gavumenti eyongera ku kitongole ky'amakomera ssente oba olyaawo ne somero lino lyandi funye ebikozesebwa ebimala.

 

Abayizi bano batubulidde nti balina enteekateka ez’okweyongerayo n’emisomo gyabwe, era nga balina  ebirubirira mu bulamu byebagala bbatukeko.

 

Bano bagamba nti guno sigwe mulundi ogusosse esomor e lino okukola obulungi.

Basobodde okufuna abayizi basatu mu grade esooka, 36 mu grade ey’okubiri, 28 mu grade ey’okusatu 20, mu grade ey’okuna ate omu yeyagudde ebigezo.

 

Kyoka 11 tebasobola kutuula bigezo bino olwensonga ezenjawulo.