menu

Mobile Search

You are here

You are here

Enkaayana mu UPC: Poliisi ekedde kuyiibwa basajja baayo ku Uganda house
Jimmy Akena, omukulembeze w'ekibiina ki UPC, alumiriza abaddukanya Milton Obote Foundation, okuba nti ssente ze bafuna tezirina weziyambidde kibiina

Olwaleero poliisi ekedde, kwetoloola ku kizimbe kya Uganda House, Oluvanyuma lw'okugwa mulukwe lwa Jimmy Akena okukunga bannakibiina ki Uganda Peoples Congress, okukeera kukizimbe kino okuwakanya olukiiko olubadde lwayitiddwa aba Milton Obote Foundation.

Jimmy Akena, omukulembeze w'ekibiina ki UPC, alumiriza abaddukanya Milton Obote Foundation, okuba nti ssente ze bafuna mu Uganda House, tezirina weziyambidde kibiina.

Terence Oyepa, akulira emirimu gya Milton Obote Foundation, agamba nti ssente zebajja mu kizimbe kino zikola emirimu mingi.

Bano bakwakanyiza ebyogerwa nti aba Milton obote nti bagala kutunda kizimbe kino.

Mulukiiko olubadde lusuubirwa okubeerayo olwaleero nga luyitiddwa aba Milton Obote Foundation lubadde lulina eteekateka ey'okukola enongosereza mungeri bano gye batambuzamu emirmu gyebwe, aba UPC kyebawakanya.

Poliisi egamba nti okukeera okuyuwa abasirikale baayo ku Uganda House kyavudde ku bubaka obukunga abantu okujja okweyuwa ku Uganda House, obwatambudden nga bawakanya olukiiko lwa Milton Obote Foundation.

Okusinzira kubiwayi byombi ebikayaanira Uganda House, ekya Milton Obote foundation kigamba obuyinza obuddukanya Uganda House bugiweebwa ssemateeka wa Foundation era nti waliwo ekibaawula ku kibiina kyebyobufuzi ekya UPC, kyoka nga ab'oludda lwa Jimmy Akena bagamba nti nga kibiina ekya UPC balina okuganyulwa obuterevu ku ssente eziva mu Milton Obote Foundation.

Era nga wano weyasinzidde neykubira enduulu mu kkooti nga eyimiriza olukiiko lwa Foundation olutasobodde  kugenda mu maaso.