menu

Mobile Search

You are here

You are here

Added: 6 days 22 hours ago
1,473 Views

Share this story

Omuwagizi wa FDC Zerida Kakai atutte omupoliisi Nixon Agasirwe mu kkooti lwa kumutulugunya
Ono agamba nti yasalawo okugenda mu kkooti enkulu okuwaaba , oluvanyuma lwokulaba ku TV nga Nixon Agasirwe ali mu kkooti y’amagye awerenemba n’ogwokuwamba abantu .

Omuwagizi wa FDC Zerida Kakai atutte gavumenti mu kkooti nga alanga omuserikale wa Poliisi Nixon Agasirwe , kati ali mu kkomera , okumutulugunya .

Ono agamba nti Nixon  yamukwatira ku ekleziya ya Christ the King mu Kampala mu may wa 2016 ekibiina kye bwekyali kisabira eggwanga  .

Ono agamba nti yasalawo okugenda mu kkooti enkulu okuwaaba , oluvanyuma lwokulaba ku TV nga Nixon Agasirwe ali mu kkooti y’amagye awerenemba n’ogwokuwamba abantu .

Nga ayita mu bannamatteekabe aba Rwakafuzi and company advocates , ayagala gavumenti emuliyirire , olwokutulugunyizibwa