TEMUTIISIBWATIISIBWA BAZUNGU :Sipiika Anita Among akunze abafrica
Sipiika wa Palamenti Anita Among asabye amawanga ku ssemazinga w'africa okubeera abanywevu baleme kukkiriza kutiisibwatiisibwa mawanga g'abazungu abaagala okumalamu obuwangwa bw’abafrika ekitiibwa .Bino bibadde mu bubaka bwe obumusomeddwa Minisita waguno ne Guli mu wofiisi ya ssaabaminisita Kasule Lumumba , mukuggulawo olukungaana lw'amawanga g'africa olutadde essira ku maka n'okwetengerera .