OKUVUJJIRIRA BAMUSIGA-NSIMBI :Ababaka batabukidde gavumenti ku fakitole y’eddagala
Palamenti esabye gavumenti okukola okwekeneenya okumala bwegenda okuganyulwa mu kampuni ya Dei Bio Pharma gyeteekateeka okuwa ensmbi obuwumbi 578 nga ya muntu ssekinoomu. Kino kiddiridde ababaka okusimba ekkuuli eri gavumenti ku ky’okuwa kampuni ssente zino okuzimba ekkolero ly’eddagala kyoka nga tebamanyi migabo emeka gavumenti gyerinaSsente zino zaayise munyongereza gavumenti gyeyayisizza mu palamenti olunaku lw’eggulo nga ya buwumbi lukumi mu kikumi, kyoka ssente ze baagala okuwa musiga nsimbi ono zezibadde zirina okukozesebwa okusasula agamu ku mabanja gavumenti g’erina.Bino byabadde mu lutuula lwa palamenti olwabaddewo akawungeezi k’eggulo.